Amawulire

Ssabalabirizi  wé Kenya Makarios alondebwa okulabirira e Kanisa ya basodookisi mu Uganda

Ssabalabirizi  wé Kenya Makarios alondebwa okulabirira e Kanisa ya basodookisi mu Uganda

Ivan Ssenabulya

September 6th, 2021

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Ssabalabirizi  wé Kenya Andreas Makarios Tilydrides , alondebwa okuba omulabirizi we kanisa ya basodookisi mu Uganda oluvanyuma lwokufa kwa Metropolitan Yonna Lwanga.

Ssabalabirizi Lwanga yasiza okwenkomerero olunaku lweggulo mu kibuga Athens mu ggwanga lya Buyonaani oluvanyuma lwokutawanyizibwa ekirwadde kya Kokolo okumala ebbanga.

Ssentebe wakakiiko akakulira enzikkiriza eno mu Uganda Rev.Fr John Bosco Kibuuka, agambye nti  Ssabasumba Makarios wakutuuka mu ggwanga olunaku lwenkya okutandika obuvunanyizibwa bwe okutuusa olukiiko lwa basumba welunatuula okulonda Ssabasumba omugya.

Ssabalabirizi Makarios, yazaalibwa mu Cyprus era yaliko Omulabirizi we kanisa ya basodookisi Alexandria mu ggwanga lya Buyonaani okutuka lweyasindibwa e Kenya mu 2001