Amawulire

Ssabalabirizi wakugaba ebirabo eri abawala abakyali emberera

Ssabalabirizi wakugaba ebirabo eri abawala abakyali emberera

Ivan Ssenabulya

July 19th, 2022

No comments

Bya Juleit Nalwooga,

Ssaabalabirizi w’ekkanisa ya Uganda Dr.Steven Kaziimba Mugalu agamba nti wakugaba ebirabo eri abaana bamasomero abakyali emberera.

Bino abyogedde mu kukyala kwe okw’Obusumba mu masomero agamu mu disitulikiti y’e Wakiso nga beetegekera ebikujjuko by’okujaguza emyaka 50 egy’obulabirizi bwa Kampala ku ssomero lya Gayaza High School.

Adams Sadiiki akulira ebyempuliziganya COU agamba nti enteekateeka eno egendereddwamu okutumbula obulongoofu mu mukwano n’obufumbo obw’ekitiibwa.

Bwe yali aweereza ng’Omulabirizi w’e Mityana, Kaziimba yatandika enteekateeka ey’okussa ekitiibwa mu bafumbo eyakuuma obulongoofu okutuusa mu kiseera ky’okufumbiriganwa.

Sadiik agamba nti Dr. Kazimba ataddewo ensimbi enkalu ezigenda okuweebwa abawala abagenda okuyita okukeberebwa ttiimu y’abakyala abalokole abalina obukugu okuzuula nti omuntu mberera natali