Amawulire

Ssabalabirizi Kazimba asabye Gavt okukuuma bannauganda mu biseera byennaku enkulu

Ssabalabirizi Kazimba asabye Gavt okukuuma bannauganda mu biseera byennaku enkulu

Ivan Ssenabulya

April 13th, 2022

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Ssabalabirizi we kanisa ya Uganda, Dr. Steven Kazimba Mugalu, asoomozeza gavumenti okukakasa nti bannauganda baweebwa obukuumi mu biseera bino ebyamazukira ga mukama waffe yesu.

Bino abyogedde awa obubaka bwe obwamazukira nga asinzira mu makage e Namirembe.

Omulanga gwa ssabalabirizi gugidde mu kaseera nga obulumbaganyi bwe bijambiya buzeemu mu bitundu bya kampala ne miriraano.

Ono agambye nti yadde nga embeera ye byokwerinda mu ggwanga si nywevu ate ebikolwa ebyobumenyi bwa mateeka tebirina kwegirisiza mu ggwanga lino nga bannauganda abatalina musango battibwa nokutusibwako ebisago.

Asabye abenyigidde mu butemu bwe bijambiya okwenenya.

Ssabalabirizi era alaze obwenyamivu olwémiwendo gyébintu ebikozesebwa mu bulamu obwabulijjo egyekanamye.

Mungeri yemu asabye bannauganda okusigala nga bakkiririza mu katonda newankubadde waliwo ebisomooza bingi kuba katonda alina amaanyi agakyusa embeera mu kaseera ke akatuufu.

Amazukira gomulundi guno gakutambulira wansi womulamwa ogugamba nti waliwo essuubi ne wali okunyigirizibwa.