Amawulire

Ssabalabirizi Kaziimba ali ku bugenyi e Mbale

Ssabalabirizi Kaziimba ali ku bugenyi e Mbale

Ivan Ssenabulya

April 2nd, 2022

No comments

Bya Benjamin Jumbe,

Ssabalabirizi wé kanisa ya Uganda, Dr Stephen Kaziimba muttaka ssaza lya North Mbale Diocese ku bugenyi obwennaku 2 ku mirimu gye egyekitume.

Ono ayanirizibwa omulabirizi we Sironko Rt Rev Samuel Gidudu na bakristaayo abalala.

Ssabalabirizi Kaziimba wakweyambisa olugendo luno okusisinkana abakulira amasomero agali kumusingi gwe kanisa agali mu ssaza lino ku kanisa ya St Luke Church of Uganda mu kibuga kye Sironko.

Essaza lya North Mbale lirina amasomero ga pulayimale 89 naga siniya 12 sagali kumusingi gwe kanisa.