Amawulire

Ssabalabirizi ayagala abaweereza ba katonda okuteeka essira ku Maka

Ssabalabirizi ayagala abaweereza ba katonda okuteeka essira ku Maka

Ivan Ssenabulya

August 26th, 2022

No comments

Bya Kiguli Diphas,

Ssabalabirizi w’ekaniisa ya Uganda Dr. Samuel Stephen Kazimba Mugalu ayagala essira abawereeza ba Katonda bongere okulisimba ku makka wamu n’omwana omulenzi nti kubanga obutabanguko busuuse ensangi zino mu makka ate nti n’ebanga ddene essiira litereddwa ku mwana muwala omulenzi nasigala ettale kyokka nga gw’egulina okubeera omutwe mu makka.

Kazimba neera ayagala ebyambalo by’ekaniisa bitekebweko etteka ekakaali okwewala abantu abayitiridde okuberimbikamu ensangi zino kyagamba nti kivvoola ekitibwa ky’ekaniisa wamu n’obukristaayo.

Ono asinzidde Mukono ku Uganda Christian University mu Provincial Assembly eyatandiise olunaku lw’eggulo nategeza nti buli bulabirizzi obulina omulabirizzi atuuse okuwuumula bugoberere emitendera emituufu basoboole okulonda omusiika ng’ekiseera kituuse.

Ono alabudde ekaniisa obutayingiza bya bufuuzi mu ntekateka y’okulonda abalabirizzi abaggya nti kubanga kyebagendako mulimu gwa Katonda so sibyabufuuzi.

Ono ali Mukono mu Ttabamiruuka w’ekaniisa ya Uganda agenda mu maaso waali ku Uganda Christian University.