Amawulire

Ssabalabirizi asiimye Gavt okutukiriza obweyamo

Ssabalabirizi asiimye Gavt okutukiriza obweyamo

Ivan Ssenabulya

November 11th, 2021

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Ssabalabirizi wékanisa ya Uganda, Dr Steven Kazimba Mugalu, asiimye gavumenti olwokutuliriza obweyamo ku ttaka lye kanisa Entebbe.

Kino kidiridde gavt gyebuvudeko okwongera okusasula ku bbanja ku ttaka lino lyekozesa mu budde buno lya buwumbi bwensimbi 5

Ssabalabirizi okwongera bino abadde akyaziza sipiika wa palamenti Jacob Oulanya mu makage e Namirembe abadde aleese obweyamo bweyakola mu kuzimba church house.

Dr Kazimba ayongedde okukubiriza abakristo okuvaayo ensimbi ku lwomulimo gwa katonda

Mungeri yemu sipiika Oulanya asuubiza obuyambi bwa gavt obutakoma eri ekanisa era neyebaza essaala ezimuwerezebwa bwabadde mu bulwadde