Amawulire

Ssabalabirizi Akungubaze

Ivan Ssenabulya

January 5th, 2018

No comments

Ssabalabirizi we kanisa ya Uganda Stanley Ntagali akungubagidde, ssbalabirizi eyawummula the Most Rev. Dr. Livingstone Mpalanyi-Nkoyoyo ngamwogeddeko, ngabadde omukulembeze owebirooto, nokulengerera ewala.

Mu kiwandiiko ekifulumye olwaleero, oluvanyuma lwamwulire gokufa kwomugenzi, His Grace Ntagali agambye nti omugenzi yali musajja mukozi, era abadde tapondooka.

Okusinziira ku kiwandiiko kino, Mpalanyi Nkoyoyo afudde pneumonia, ngafiridde mu ddwaliro lya Kampala Hospital, wano mu kibuga ekikulu.

Ate ettendekero lya Uganda Christian University likungubagidde omugenzi.

Bwabadde ayogerako naffe, omumyuka wa ssnekulu wa UCU Rev Canon Dr. John Ssenyonyi agambye nti omugenzi Nkoyoyo akoledde egwanga bingi ne kanisa, kalenge obulamu bwe bunajjukirwanga.

Omugenzi yoomu ku batandisi be ttendekero lya UCU.

 

Mu balala abakungubaze ye, ssenkaggale wa DP, Norbert Mao ngayogedde ku mugenzi, ngabadde omuyigirizwa owamaanyi.

Mao agambye nti Nkoyoyo mukama amaujjuludde, mu kaseera egwanga weribadde lisinga okumwetaaga.

Agamba nti egwanga lyetaaga okujanajabibwa okwomwoyo.

Afundikidde agamba nti ddala omugenzi alse omukululo.

Ekkanisa ya Uganda efulumizza entekateeka ezekiseera ezokukungubaga nokuziika, omugenzi Nkoyoyo.

Bwabadde ayogera ne banamawulire, oluvanyuma lwakafubo aketabiddwamu abakulu ssabalabirizi we kanisa ya Uganda, Kitaffe mu Katonda Stanley Ntagali ategezeza nti omugenzi wakuzikibwa ku Lwokubiri lwa wiiki ejja, ngabenganda okuva e Bulaaya batuuse.

Omubiri gwomugenzi gwakutwalibwako ku kanisa ya All Saints e Nakasero, ku lutikko e Namirembe nga wategekeddwawo nokusaba okunabeera mu Bulabirizi bwe Mukono.

Omugenzi, Livingstone Mpalanyi Nkoyoyo yasumba ekanisa ya Uganda wakati wa 1995 ne 2004.

Omugenzi  yeyatandika emirimu gyokuzimba ekitebbe jiyite, Church House ne kkumiro lyebyafaayo.

Ono waafiridde ngayagala ekifo kino kiggwe nga buli Muntu akirowoozaako

Dr. Livingstone Mpalanyi Nkoyoyo yazalibwa mu 1938, Erisa Kintu ne maama Nawume Kintu nga yazalibwa mu gombolola ye Busimbi e Mityana.