Amawulire

Ssababalirizi wéitabo bya Gavt akubye ebituli munkola ya PDM

Ssababalirizi wéitabo bya Gavt akubye ebituli munkola ya PDM

Ivan Ssenabulya

January 19th, 2023

No comments

Bya Rita Kemigisa,

Ssababalirizi w’ebitabo bya Gavumenti, ayanjiza alipoota eyomwaka ogwa 2021/22 eri Parliament nga aliko ebituli byalengedde mu nkola eya Parish Development Model.

John Muwanga bw’abadde akwasa Speaker Anita Among alipoota eno enkya ya leero, ategeezezza nti wadde nga gavumenti yalowooza bulungi okuteekawo enkola eno okuyambako omuntu wa wansi, naye bingi bikyabulamu nga bigilemesezza n’okubukala mu bantu.

Mu byasonzeeko mwemubadde okuwaayo sente eri ebibiina byobwegassi nga sibiwandiise mu mateeka, ebibiina by’obwegassi ebimu negyebuli eno ebyazifuna bilemereddwa okuzikozesa, bwiino asobola okukozesebwa okuzuula baani abafunye ku nsimbi zino mu kiseera kino kikyaali kizibu okumufuna.

Ssababalirizi wa Gavumenti era ategeezezza nga ku buwumbi 234 obwaweebwayo okulwanyisa obwavu, obuwumbi 594 bwasindikibwa mu zigavumenti z’ebitundu 5 kyokka nga ensasaanya ya zino ekyalemeddwa okulagibwa.

Oluvanyuma lw’okukwasibwa alipoota eno, Speaker Among asabye Ssababalirizi okulondoola neriiso elyongi ensimbi eza parish development model