Amawulire

Ssaabawolereza wa Gavt ayagala ebbago ery’obuyambi mu by’amateeka lisuulibwe mu Kaseero

Ssaabawolereza wa Gavt ayagala ebbago ery’obuyambi mu by’amateeka lisuulibwe mu Kaseero

Ivan Ssenabulya

February 15th, 2023

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Ssaabawolereza wa gavumenti Kiryowa Kiwanuka ayagala ebbago ly’etteeka ery’obuyambi mu by’amateeka erya National Legal Aid Bill, 2022, liggyibwewo ng’alaga nti liyinza okukosa gavumenti mu by’ensimbi.

Bino abyogedde ng’ali mu maaso g’akakiiko ka palamenti ak’ebyamateeka enkya ya leero, n’agambye nti gavumenti yakukozesa ensimbi ezisoba mu buwumbi 47 okussa mu nkola ebbago lino nga limaze okuyisibwa palamenti.

Mu September w’omwaka oguwedde, palamenti yakkiriza omubaka wa Munisipaali y’e Kumi, Sailas Aogon, okuleeta ebbago ly’etteeka erikwat kukuwa obuyambi mu mateeka mu ggwanga oluvannyuma lw’okufuna satifikeeti eraga gavt ensimbi zeeyinza okusasanya okuva mu minisitule y’ebyensimbi.

Kiwanuka agamba nti waliwo obuwaayiro obumu obwayingizibwa mu bbago lino, eligifuula ely’ebbeeyi ku ludda lwa gavumenti okuliteeka mu nkola.

Wabula omubaka eyaleeta ebbago lino Aogon bino abiwakanyiza nagamba nti tewali nsimbi za maanyi gavt zeeyinza okufulumya.

Ebbago lino ligenderera okwanguyiza abantu abatesobola kusasulira bya mateeka okusobola okufuna obwenkanya mu mbuga za mateeka