Amawulire

Ssaabawolereza wa Gavt asabye Kkooti egobe okusaba kwa Ebiru

Ssaabawolereza wa Gavt asabye Kkooti egobe okusaba kwa Ebiru

Ivan Ssenabulya

September 15th, 2023

No comments

Bya Ruth Anderah,

Ssaabawolereza wa gavumenti asabye kkooti ewozesa abakenuzi egobe okusaba kw’eyali akulira ekitongole ekya Uganda National Bureau of Standards, David Ebiru mw’ayagala okuyimiriza omusango gwe ku misango gy’okulya enguzi okutuusa ng’okunoonyereza kuwedde.

Oludda oluwaabi lulumiriza nti wakati wa October ne December 2022, Ebiru yawaayo obukadde bwa Sillingi 100 eri Charles Masekura, Ssentebe w’olukiiko olufuzi olwa UNBS ngénguzi asobole okusigaza ekifo kye.

Ssaabawolereza wa gavt agamba nti waliwo ekiragiro ky’okukwata Ebiru ekikyalindiridde mu kkooti elwanyisa enguzi, era waliwo okutiisibwatiisibwa okulindiridde okuteekebwa mu nkola, ekifuula okusaba kwe okutaliimu mugaso.

Wabula Ebiru ayagala okuyitibwa n’ekiwandiiko ekikukwata, n’okuwozesebwa birangirirwe nti tebiri mu mateeka.

Ensonga ye bwewuliddwa olwaleero mu maaso gómulamuzi Jane Kajuga, Ssaabawolereza wa Gavumenti ng’ayita mu Principal State Attorney Wanyama Kodoli, asabye kkooti egobe okusaba kw’ekiragiro eky’ekiseera nga bagamba nti ekitongole kya kkooti elwanyisa obuli bw’enguzi tekirina buyinza kuwulira nsonga za ddembe lyóbuntu ezibadde zireeteddwa mu maaso gaayo.