Amawulire

Ssaabasumba Ssemwogerere asabye amakulu góbufumbo obutakyusibwa

Ssaabasumba Ssemwogerere asabye amakulu góbufumbo obutakyusibwa

Ivan Ssenabulya

November 17th, 2022

No comments

Bya Juliet Nalwooga,

Ssaabasumba w’essaza ekkulu erya Kampala, Paul Ssemogerere agamba nti obufumbo si bwa kugabana bintu bya bufumbo ng’amateeka bwe gaagala okukiraga, era asabye abafumbo okukwatira ddala obufumbo ng’ekirabo kya Katonda mwebalina okufunira essanyu.

Mu kulambula kwe kuttendekero lya Buganda Royal institute e Mengo, Ssaabasumba agambye nti abantu batera okuyingira obufumbo lwa bugagga okusinga empisa enkulu eziri mu bufumbo ng’omukwano, essanyu n’okwesigangana.

Ku Lwokubiri, kkooti ejulirwamu yasazeewo nti tekikyali nga etteeka bwerirambika erikwata kungabana ku byobuggaga bya bafumbo abagala okwawukana nga ligamba nti abagala balina kufuna kyekanyi ebitundu 50%

Abalamuzi ba kkooti eno bagala abagalana abagala okwawukana okuva mu bufumbo byabwe bagabane ebyobugagga okusinzira ku buli omu amaanyi geyateekamu okubikola.

Ssaabalabirizi wabula alaajanidde abafumbo okulaba ng’obufumbo bubeera mu mirembe n’okuwangaala nga bugenderera okukulaakulanya amaka agataliimu kwefaako bokka na bokka mu bintu by’abafumbo bombi.