Amawulire

Ssaabasajja Kabaka n’obubaka obw’amazuukira 2023

Ssaabasajja Kabaka n’obubaka obw’amazuukira 2023

Ivan Ssenabulya

April 7th, 2023

No comments

Bya Mike Sebalu. Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II asabye abakkiriza okufuba ennyo okusabira ebyo ebisomooza abantu n’eggwanga lyonna okutwalira awamu wakati mu kutambuza ekkubo ely’omusaalaba.

Mu byanokoddeyo mwemuli ebikolwa eby’obunnanfuusi, emisolo emingi, obulyake, okutyoboola empisa n’eby’obuwangwa, ebbula ly’emilimu mu bavubuka n’ebilala.

Mu bubaka bwe obwa Paasika obuvudde embuga, omutanda asabye okwebonereza n’okwegayilira abakkiriza kwebabaddemu mu kisiibo, kubaviiremu obulamu obuggya, essanyu n’emirembe.

Omutanda era awadde amagezi abantu abagenda okujaguliza amazuukira mu byalo, okukozesa ennaku zino  okukubirizi n’okujjumbizisa abantu okwenyigira mu milimu egireeta ensimbi, okuba n’emmere emala mu maka n’okuweerera abaana.

Omutanda era ayagala abantu be okwagazisa nnyo abaana ebika byabwe.