Amawulire

Ssaabaminisita Nabbanja yetonze olwa Baminisita abba amabaati

Ssaabaminisita Nabbanja yetonze olwa Baminisita abba amabaati

Ivan Ssenabulya

April 6th, 2023

No comments

Bya Rita Kemigisa,

Ssaabaminisita Robinah Nabbanja yeetonze ku lwa baminisita be okwezibika amabaati agalina okuweebwa abatuuze be Karamoja.

Okwogera bino abadde alabiseeko mu maaso ga kakiiko ka palamenti akakola kunsonga zomuk weggwanga akali mu kunonyereza ku mivuyo egyetobese mu mabaati agalina okuweebwa abakaramoja.

Nnabbanja asabye aleme kuwanikibwa ku musaalaba olwensombi ezakolebwa baminisitabe era awadde amagezi nti bonna abaafuna ku mabaati gano bagakomyewo mu bwangu.

ono era alagidde nti amabaati gonna agalina okugenda mu bitundu ebirala bakyusibwe gagende e karamoja okuyambako abantu bano okufuna kunyumba ezomulembe.

Ababaka ku kakiiko akakulirwa omubaka omukyala owa disitulikiti y’e Adjumani Jessica Ababiku babuuzizza ssaabaminisita lwaki talondoola baminisita be.