Amawulire

Ssaabalamuzi avudemu omwasi ku musango gwábabaka abali ku Alimanda

Ssaabalamuzi avudemu omwasi ku musango gwábabaka abali ku Alimanda

Ivan Ssenabulya

February 3rd, 2023

No comments

Bya Mike Sebalu,

Ssaabalamuzi Alfonse Owiny Dollo, ategeezeza Gavumenti nti ekitongole ekiramuzi kyetegefu okuwulira omusango gw’ababaka ababiri abali  mu kkomera muobutasuka myezi ena awatali kwekwasa nsonga yonna.

Omubaka wa Kawempe north, Mohamad Ssegirinya ne munne makindye west ne Allan Sewanyana bamaze omwaka mulamba kati ku limanda ku misango gy’obutemu egyekuusa ku butemu bwebijjambiya obwali mu bendobendo lyé Masaka nomusango gw’obutujju.

Ssaabalamuzi agamba nti omusango gwa babaka bano gulina okugwa mu bbanga lya myezi ena nálabula omulamuzi aguli mitambo okwanguyirizako oguwozesa.

Okwogera bino abadde aggulawo omwaka gw’amateeka omuggya, ku kitebe ky’ekitongole ekiramuzi, ku kkooti enkulu mu Kampala.