Amawulire

Ssaabalabirizi Kaziimba atabukidde abayingiza abayizi mu Bisiyaga

Ssaabalabirizi Kaziimba atabukidde abayingiza abayizi mu Bisiyaga

Ivan Ssenabulya

December 20th, 2022

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Ssabalabirizi wé kanisa ya Uganda kitaffe mu Katonda Dr. Stephen Kazimba Mugalu awadde gavumenti amagezi okuteekawo enkola enasobozesa abayizi mu masomero okuloopa abo ababayingiza mu bikorwa eby’obuli bw’ebisiyaga.

Buno bumu ku bubaka bwa Ssabalabirizi obw’amazaalibwa ga mukama waffe Yesu bw’abadde era obufundikira omwaka nga asinzira mu makage e Namirembe mu Kampala.

Ssabalabirizi agamba nti bafunye amawulire nga bwewaliwo ekibinja ky’abantu abakwasibwa eddimu ly’okuwandiisa abaana b’amasomero mu bikorwa by’obuli bw’ebisiyaga nga babapokera omusimbi ne basikirizibwa.

Dr Kazimba alabudde nga ekkanisa gyakulembera bwejja okukuuka ejjembe ng’elwanyisa abantu abalinga bano abefunyiridde okusanyaawo enzikiriza n’empisa.

Ono era awadde abazadde amagezi obutemalaako nsimbi mu biseera eby’ebikujjuko nga bakimanyidde ddala nti okusoma kw’abaana kugenda kuddamu amangu ddala nga bavudde mu lummula.

Ategeezezza nga bwekiri ekyesonga okusasanya nga balekamu abaana basobole okudda ku masomero ng’ebiseera bituuse.

Ono era abazadde abawadde amagezi okufaayo ennyo ku baana mu biseera bino ebyoluwummula wamu nga kwogasse n’okubakwasisa empisa ez’omubantu.