Amawulire

Ssaabalabirizi Kaziimba asabye wabeewo okukyusa endowooza eri abakaramoja

Ssaabalabirizi Kaziimba asabye wabeewo okukyusa endowooza eri abakaramoja

Ivan Ssenabulya

February 18th, 2023

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Ssaabalabirizi w’ekkanisa ya Uganda Rev Dr. Stephen Samuel Kaziimba Mugalu asabye wabeewo pulogulaamu ezigendereddwamu okuleeta enkyukakyuka mu ndowooza zábantu mu kitundu ky’e Karamoja.

Ssaabalabirizi abadde mu kitundu kino okujjukira olunaku lwa Janani Luwum, wiiki eno, yalambudde ebifo ebiwerako n’akizuula nti abantu b’e Karamoja beetaaga okuyambibwa okukyusa obulamu bwabwe mwebatambulira obwedda bade ku bwomulembe guno.

Yagambye nti obutali butebenkevu obugenda mu maaso e karamoja buva ku ndowooza y’abantu nti balina okubeera balunzi kyokka songa waliwo ebintu ebirala bye basobola okwenyigiramu okuleeta enkulakulana mu kitundu kyabwe.

Dr. Kaziimba yasabye gavumenti okussa essira ku kuleeta enteekateeka ezigenderera okukyusa embeera z’abantu mu kitundu kino nga bayita mu kuleeta okusomesa okw’obwereere, ate nga kwabuzze eri abaana bonna n’ebirala.