Amawulire

Ssaabalabirizi Kaziimba asabye Gavt kubya Banka Yensi yonna

Ssaabalabirizi Kaziimba asabye Gavt kubya Banka Yensi yonna

Ivan Ssenabulya

August 26th, 2023

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Ssaabalabirizi w’ekkanisa ya Uganda, Rev. Dr. Stephen Samuel Kaziimba Mugalu azzeemu okukakasa nti Ekanisa yeewaddeyo okukuuma ekitongole ky’obufumbo nga kikwatagana n’ebyawandiikibwa bya Baibuli, wadde nga waliwo okutiisibwatiisibwa okuva mu bagabi b’obuyambi.

Bino yabyogedde ng’akola emikolo gy’okujaguza emyaka 25 egy’obufumbo bwa Ven. Canon Edward Kironde ne Maama Harriet Balamaze mu kisaawe kya Mehta mu Munisipaali y’e Lugazi.

Dr. Kaziimba yakikkaatirizza nti Eklezia ejja kunyweza emisingi gy’empisa n’okussaawo enteekateeka ezeeyimirizaawo okulaba nga yeetongodde ku bagabi b’obuyambi abawagira ebisiyaga.

Yasabye gavumenti okutwala eky’okuyimiriza obuyambi okuva mu bbanka y’ensi yonna ng’omukisa okulwanyisa obuli bw’enguzi kisobozese okugabanya mu bwenkanya eby’obugagga ebiri mu ggwanga eri buli muntu  ate n’okukendeeza ku nsaasaanya yaayo esobole okuba ne nsimbi ezimala okukola ku bizibu bye ggwanga.