Amawulire

Ssaabalabirizi Kaziimba asabye abakkiriza okusabira e Kanisa ya Kristo

Ssaabalabirizi Kaziimba asabye abakkiriza okusabira e Kanisa ya Kristo

Ivan Ssenabulya

April 14th, 2023

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Ssaabalabirizi w’ekkanisa ya Uganda, Dr. Steven Kaziimba Mugalu asabye abakkiriza mu Uganda okusabira ekkanisa ya kristu okutebenkera nga kw’otadde n’ensi yonna wakati mu kibuyaga w’ebisiyaga.

Bino abyogedde enkya ya leero bw’abadde ayogerako eri bannamawulire, mu maka ge e Namirembe nga abategeeza ku lukungaana lwa Global Anglican Fellowship Conference (GAFCON) olugenda okubeera e Kigali Rwanda olutegekeddwa nga 17th -21st April 2023.

Dr. Kaziimba agamba nti ensi kati eri mu kattu k’enjigiriza ez’obulimba ezasensera edda ne Kanisa ya abangulikani enkulu e Bungereza oluvannyuma lw’okukkiriza okuwa omukisa obufumbo ku bantu abekikula ekimu okuli abasajja n’abasajja, nábakazi nábakazi nga baibuli eyigiriza lwattu nti ebisiyaga kibi mu maaso ga Katonda.

Ategeezezza nti ekibiina kya GAFCON omwegatira abakulembeze mu kanisa ya abangulikan ekigatta bammemba abasoba mu 1300 okuva mu mawanga 53 mu nsi yonna kigenda kwogera ku kusalawo kw’ekkanisa ya Bungereza n’okunoonya obulagirizi bwa Katonda okusalawo ekiddako ku kunyweeza  omusingi gw’ekkanisa.