Amawulire

Ssaabalabirizi ayagala wabeewo ekikolebwa ku baami abasuddewo obuvunanyizibwa

Ssaabalabirizi ayagala wabeewo ekikolebwa ku baami abasuddewo obuvunanyizibwa

Ivan Ssenabulya

April 9th, 2023

No comments

Bya Mike Sebalu. Ssaabalabirizi wa Uganda kitaffe mu Katonda Samuel Steven Kazimba Mugalu yenyamidde olw’omuwendo gw’abataata abesuuliddeyo obuvunanyizibwa ku kulabilira abaana bebazaala nga n’amaka mwogatwalidde.

Ng’abulira mu kusaba kw’amazuukira ku Lutikko y’abakkiriza (All Saints Cathedral) e Nakasero, Ssaabalabirizi Kazimba ategeezezza nga kino bwekyeyolekera mu kunoonyereza okwakolebwa ekkanisa.

Agamba nti okusinziira ku bibalo ebyafulumira mu kunoonyereza, ba taata abakola ebitundu 10 ku 100 bazaala abaana nebaleka eyo nga tebamanyi nabibafaako.

Kazimba agamba nti okunoonyereza era kwakyoleka lwatu nti abasajja abakola ebitundu 45 ku 100 baalina abaana bebazaala wabula nga tebabalabangako wadde okutuulako awo nabo banyumyeko nabo mu buntu.

Okunoonyereza era kwekumu kwakizuula nti amaka agaakola ebitundu 25 ku 100 gaali gakulirwa bakyaala.

Agamba nti bino byonna byoleka okusomoozebwa eggwanga kwelyolekedde okuddamu okukwasisa abaami obuvunanuyizibwa bwabwe  elitali ekyo eggwanga lyolekedde akaseera akazibu.

Ate okuvaako ku lutikko e Rubaga, Ssabasumba wéssaza ekkulu erya Kampala Paul Ssemwogerere ayagala ebitongole bya gavumenti ebikwasisa amateeka okwongera okuteekesa mu nkola Ssemateeka wéggwanga naddala nga bakola ku abo bebalowooza nti baliko obumenyi bw’amateeka bwebenyigiramu.

Ono era ayagala nábo abakyakuumirwa mu mbuga zámateeka nga tebawozesebwa, bawozesebwe abasangibwa nga tebalina musango bayimburwe.