Amawulire

Somalia okwegatta ku mukago kwa East Africa ku kyali mu lusuubo.

Ivan Ssenabulya

February 9th, 2018

No comments

Bya samuel ssebuliba.

 

Ababaka ba parliament eya East African abava mu uganda bakubaganye empawa ku ky’okukiriza egwanga lya Somalia okwegatta ku mukago guno.

Kinajukirwa nti abakulembeze b’amawanga gano bwebanaaba bali mu tabamiruka agenda okutuula wano  28th basubirwa okutesa ku nsonga eno oba enaasoboka.

Kati twogedeko n’omubaka okuli Susan Nakawuki,  nagamba  nti kino singa kikolebwa kyakukiriza abatujju okusala amangu okujja okukola obulabe mu mawanga gannamukago, kale bano tebagwana kwesembereza.

Wabula ye munne Fred Mukasa Mbidde bino abiwakanyizza nga agamba nti nakakano abantu bano beetaya mu mawanga gannamukago, kale nga okubagatta ku mukago kyakuyamba okubalondoola.