Amawulire

Sipiika ne ssabalamuzi bakuubaganye- ensonga zakuwangana kitiibwa.

Ivan Ssenabulya

January 29th, 2018

No comments

Bya samuel ssebuliba

 

Speaker wa parliament Rebecca Kadaga atabukidde ekitongole ekiramuzi nga agamba nti kino kitandise okuyisa amaaso mu parliament, nadala munkola yaayo ey’emirimo.

Kinajukirwa nti kooti gy’ebuvudeko yayita speaker Kadaaga okwenyonyolako lwaki yagoba ababaka omukaaga mu parliament  mukuteesa ku ky’okujja ekomo ku myaka gy’omukulembeze we gwanga, kyoka speaker naagaana nga agamba nti lino joogo lya kooti okumulagira okuyimiriza emirimogye agenda yeewozeeko.

Kati bwabadde ayogerako  mukugulawo  omwaka gw’amateeka wali  ku kooti enkulu, Kadaga agambye nti kooti  egwana eyige okuwa  palament ekitiibwa, kubanga n’amateeka weegali agamuwa enkizo munkolaye ey’emirimo.

Wabula mukwogera ye ssabalamuzi wa uganda omukulu Bert Katurebe amugambye nti wano mu uganda mpaawo ali wagulu wamateeka, kale nga singa munna- uganda yenna eganda mu kooti nabaako kyeyemulugunya ku speaker, kooti teba nakyakukola okujjako okumuyita.

Ono agamba nti  omukulembeze omulungi yalina okukolanga  ekyokulabirako, kale nga yo kooti emusuubira okubisaamu engato okugenda mu kooti bamale ensonga ezo.

Ate  ye akulira ekibiina ekitaba abalamuzi  Francis Gimala eno naye gyasinzidde navumirira eky’abamu ku bakungu ba gavument okuyisanga amaaso mu biragiro bya kooti.

Ono agamba nti government eno emanyiddwa nga etawagira byakuysa lugaayu mu nfuga ey’amateeka, kyoka ekisinga okuluma nti kati ate abakungu ba gavument bagufude muze okuyisa olugaayi mu biragiro nga bino.