Amawulire

Sipiika asabye Gavumenti kutteeka lya Banka zóbusiraamu

Sipiika asabye Gavumenti kutteeka lya Banka zóbusiraamu

Ivan Ssenabulya

November 16th, 2022

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Sipiika wa palamenti Anita Among asabye gavumenti okwanjulira palamenti mu wiiki bbiri, ennongoosereza mu tteeka erifuga bbanka z’obusiraamu okukkiriza enkola y’obusiraamu ey’okutereka mu bbanka okuteekebwa mu nkola mu Uganda.

Kino kiddiridde omubaka wa Bukooli Central, Solomon Silwanyi okutegeeza nti palamenti  ey’ekkumi yayisa etteeka erikwata ku bbanka z’Obusiraamu kyokka n’okutuusa kati terinnateekebwa mu nkola songa lyandiyambye okukulaakulanya Bannayuganda naddala mu kiseera kino nga Bannayuganda bali mu kulwanagana n’embeera eyajja nómuggalo gwa covid-19.

Omubaka wa munisipaali y’e Bugiri Asuman Basalirwa anenyezza gavumenti okulwawo okussa mu enkola bbanka z’Obusiraamu mu Uganda songa baawayo dda ebiteeso byabwe nga ababaka abasiramu eri kabinenti.

Mungeri yeemu minisita w’amakolero, David Bahati ategeezezza palamenti nti beetaaga okukyusa mu tteeka lino okuva Bank ya Uganda eyaweebwa omulimu gw’okulondoola enkola ya banka zobusiraamu okugaana okutwala obuvunaanyizibwa buno.