Amawulire

Sipiika asabye Gavt okutondawo akakiiko akavunanyizibwa ku Misaala gy’abakozi

Sipiika asabye Gavt okutondawo akakiiko akavunanyizibwa ku Misaala gy’abakozi

Ivan Ssenabulya

May 16th, 2023

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Okuttibwa kw’omuyindi, Uttam Bhandari, abadde akulira kampuni ewola ensimbi mu kibuga kampala kuleesewo okukubaganya ebirowoozo mu palamenti ku mbeera y’obw’obwongo bwantu, omusaala omutono n’amagoba agasukkiridde ba mane lenda gebabinika abeewozi.

Sipiika wa palamenti Anita Among, asabye gavumenti okwanguyiriza okutondawo akakiiko akakola ku Misaala gya bakozi ba gavumenti wabula alabudde nti omusaala omutono omuntu gwafuna tegulina kwesigamwako kuzza musango.

Bino abyogedde akubiriza olutuula lwa leero, era asabye gavumenti okulungamya ku magoba mu katale okusobola okukendeeza ku kya bannansi okugibwako ensimbi ezisukiridde ku nsimbi ennewole.

Omubaka w’essaza ly’e Jonam, Emmanuel Ongiertho, yeebuuzizza lwaki omusirikale wa poliisi Ivan Wabwire yasalawo okwewola ebweru wa Sacco ya poliisi.

Omubaka wa Kalungu West County Joseph Ssewungu asabye gavumenti ng’eyita mu minisitule y’ensonga z’omunda eyanjule ekiwandiiko ekikwata ku ttemu eribaddewo gye buvuddeko mu ggwanga okusobola okukubaganya ebirowoozo mu ngeri entuufu n’okugonjoola ensonga.

Mungeri y’emu omubaka wa Busiki County, Paul Akamba asabye wabeewo enkola enkakali ey’okufuga emmundu.