Amawulire

Sipiika asabye ababaka obutatya Bazungu kuyisa tteeka eriwera ebisiyaga

Sipiika asabye ababaka obutatya Bazungu kuyisa tteeka eriwera ebisiyaga

Ivan Ssenabulya

March 9th, 2023

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Sipiika wa palamenti Anita Among asabye babaka banne obutatiisibwatiisibwa nti singa bayisa etteeka erikugira ebisiyaga mu ggwanga lino, bagenda kumibwa viza ezibayingira mu Amerika.

Bino abyogeredde oluvanyuma lwa minisita w’ebyensimbi, Matia Kasaija okuwaayo satifikeeti ekwata ku by’ensimbi, mu kutambula ebbago lye teeka ku kulwanyisa ebisiyaga.

Among era ayambalidde bannamawulire abawano ne bweru weggwanga abasinzeko palamenti okwagala okumanya ebigenda okuteesebwa ku bbago lino.

Among akikkaatirizza nti ebbago eriri mu maaso ga Palamenti likwata ku mpisa era likwata kubukuumi bwa baana ba Uganda mu mulembe ogujja.

Okusinziira ku yaleeta ebbago lino, Asuman Basalirwa, omubaka wa Munisipaali y’e Bugiri, ebbago lino, bagenderedde kukuuma amaka n’ennono nga; bawera engeri yonna ey’okwegatta wakati w’abantu ab’ekikula ekimu n’okutumbula oba okukkiriza okwegatta wakati w’abantu ab’ekikula ekimu.