Amawulire

Sipiika Anita avumiridde obulumbaganyi ku poliisi yé Busiika

Sipiika Anita avumiridde obulumbaganyi ku poliisi yé Busiika

Ivan Ssenabulya

November 1st, 2022

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Omukubiriza wa palamenti Anita Among avumiridde obulumbaganyi obwakolebwa ku poliisi ye Busiika mu disitulikiti eye Luwero.

Ono era atadde kunninga minisitule eye byensimbi okutangaza palamenti oba ddala ensimbi eziyisibwa palamenti okugenda eri ekitongole kya polisi zituukayo ne zikola emirimu.

Mu bulumbaganyi obwakolebwa akawungeezi kajjo, abasirikale ba poliisi 2 battibwa na balala ne balumizibwa, abalumbaganyi ne bakuliita ne mmundu.

Sipiika agambye nti obulumbaganyi nga buno bweyongedde nyo mu ggwanga ate nga bulaga nti tewali patulo ya poliisi ebeerawo okudukirira akabi nga kagudde.

Asabye emotoka za patulo bulijjo zibeengawo ne bikozesebwa byonna zitaase nga abali mu bwetaavu.

Ate omubaka wa Kampala wakati, Muhammad Nsereko asabye gavumenti okuteeka ebyuma ebilondoola emmundu eziba zibbiddwa kisobozese okukwata abo abamenyi bamateeka.

Ono era yeebuuzizza kiki ekyatuuka ku kuteeka kkamera za CCTV mu bifo ebyenjawulo kuba nazo zaali zakuteekebwa okwetooloola ebitebe bya poliisi mu eggwanga.