Amawulire

Sipiika Among akungubagidde Kwiini Elizabeth 11

Sipiika Among akungubagidde Kwiini Elizabeth 11

Ivan Ssenabulya

September 12th, 2022

No comments

Bya Damali Mukhaye,

Sipiika wa Palamenti, Anita Among asiimye Nnabagereka wa Bungereza, n’amwogerako ng’omukyala ebadde omwagazi wóbumu n’emirembe era nga abadde kyakulabirako eri abakyala bangi okwetoloola ensi yonna.

Bino Among abyogedde akyaddeko ku kitebe kya bungereza mu Kampala okussa omukono mu kitabo ekikubagira Nnaabagereka Elizabeth II

Ng’afumiitiriza ku bufuzi bwe obw’emyaka 70, Among asiimye Nnabagereka olw’okulwanirira obumu kati obuli mu mawanga agali mu mukago guno n’ensi yonna.

Amongi ayaniriziddwa akulira Bungereza mu Uganda, Kate Airey.

Nnabagereka Elizabeth II, nga ye mukulembeze wennono akyasinze okumala ebbanga eddene ku nnamulondo mu byafaayo bya Bungereza yafudde ku Lwokuna ku myaka 96.

Olubiri lwa Buckingham lwalangirira ennaku 10 ez’okumukungubagira.