Amawulire

Sipiika Among agamba nti waliwo abagala okumutta

Sipiika Among agamba nti waliwo abagala okumutta

Ivan Ssenabulya

September 8th, 2022

No comments

Bya Benjamin Jumbe,

Sipiika wa palamenti Anita Among abuulidde ababaka nga obulamu bwebuli mu matiga, nga waliwo abagala okumutta.

Among agamba nti azze afuna okutiisibwatiisibwa okuttibwa.

Wabula agamba nti tajja kuva ku mulamwa era agenda kwongera okuweereza eggwanga

Mungeri yeemu Ssabaminita Robinah Nabbanja mu kumwanukula ku nsonga eno agambye nti gavumenti egenda kunoonyereza ku nsonga eno mu bujjuvu ate n’okwongera amaanyi mu by’okwerinda bya sipiika.