Amawulire

Sipiika alagidde Ssaabaminisita okwanja ekiwandiiko ekikwata ku bakulembeze ba NUP abakwatibwa

Sipiika alagidde Ssaabaminisita okwanja ekiwandiiko ekikwata ku bakulembeze ba NUP abakwatibwa

Ivan Ssenabulya

October 11th, 2023

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Omumyuka wa sipiika wa palamenti Thomas Tayebwa alagidde Ssaabaminisita ne minisita w’ensonga z’omunda okwanjula ekiwandiiko ku mwaliiro gwa palamenti enkya ku bikwata ku kukwatibwa mu bukambwe abakulembeze n’abawagizi békibiina kya National Unity Platform okwabaddewo ku ntandikwa ya wiiki eno.

Bino abyogedde aggulawo olutuula lwa leero, Tayebwa agamba nti ebbaluwa yagifunye okuva ew’omukulembeze w’oludda oluvuganya nga emusaba akozese obuyinza bwe okuwaliriza gavumenti okuwa sitatimenti ku kukwatibwa kw’abakulembeze ba NUP n’abawagizi baabwe nga tebannadda mu palamenti.

Ono agambye nti eggulo teyasobodde kusaba minisita w’ensonga z’omunda okwanjula ekiwandiiko ku bigambibwa nti abakulembeze ba NUP baakwatiddwa mu bukambwe kubanga minisita teyabaddewo.

Tayebwa agambye nti eggulo yalung’amyiza  ab’oludda oluvuganya ku ngeri gye balina okukwatamu ensonga eno kyokka ne batamuwuliriza ne beekaddanga ne bafuluma palamenti wabula asiimye Mpuuga okumuwandikira kunsonga eno era kwekulagira ssaabaminisita ne minisita w’ensonga z’omunda okuleeta sitatimenti enkya.