Amawulire

Sipiika alabudde abavuganya ku bifo bya EALA kunguzi

Sipiika alabudde abavuganya ku bifo bya EALA kunguzi

Ivan Ssenabulya

September 27th, 2022

No comments

Bya Benjamin Jumbe,

Sipiika wa palamenti Anita Among alabudde abesimbyewo okuvuganya ku bifo byabanakikirira Uganda mu palamenti ya East Africa okwewala enguzi.

Okulabula kuno akukoze ng’ayogera ne bannamawulire mu ofiisi ye akawungeezi ka leero, n’agamba nti engeri yonna ey’okukozesa obubi mu kulonda kuno erina okwewalibwa nábakuutira okuleka manifesito zaabwe zibogerere.

Akubirizza ebibiina by’obufuzi ebirina abesimbyewo okwenyigira ennyo mu kulonda kuno, n’agamba nti y’engeri yokka gye basobola okuba n’abakiikirira abatuufu.

Agamba nti kampeyini ku Lwokuna zigenda kutandika ku ssaawa 3:00 ezokumakya era buli eyeesimbyewo waakuweebwa eddakiika 7 okunoonya akalulu.

Ababaka ba Palamenti 9 okuva mu Uganda bebagenda okulondebwa mu lukiiko olufuzi olwa East Africa ku Lwokuna lwa ssabiiti eno