Amawulire

Sipiika akungubagidde eyali Ssabasumba Bakyenga

Sipiika akungubagidde eyali Ssabasumba Bakyenga

Ivan Ssenabulya

July 18th, 2023

No comments

Bya Mike Sebalu,

Abantu abénjawulo bakyagenda mu maaso nókuweereza obubaka obukungubagira eyaliko Ssabasumba wé Ssaza lye Mbarara, Paul Bakyenga, eyafudde mu bulamu enkya ya leero.

Omumyuka wa Sipiika wa Palamenti Thomas Tayebwa, mu bubaka bwe obw’okusaasira, agambye nti Bakyenga yali taata ow’omwoyo, omukulembeze omusanyufu era omubuulirizi eri abakkiriza bangi.

Ono agambye nti obubaka bwe okuva eri katonda bwakwatanga ku buli muntu.

Tayebwa agamba nti talyerabira okulungamizibwa okwamuweebwa Ssabasumba Bakyenga nga yamutegeeza nti ngómukulembeze alina okufisa akadde mu kasirise ayogereko ne katonda asobole okuweereza bannauganda obulungi.

Asaasidde aba famire y’omugenzi n’Eklezia Katolika yonna n’eggwanga okutwaliza awamu.

Gye buvudeko ne Sipiika wa Palamenti Anita Among naye yasiimye omugenzi Bakyenga ngómusajja anbadde omutabaganya songa alese omukululo mu byenkulakulana ye ggwanga.