Amawulire

Sipiika agaanye ekya Museveni okuvaayo kunsonga z’eby’okwerinda

Sipiika agaanye ekya Museveni okuvaayo kunsonga z’eby’okwerinda

Ivan Ssenabulya

November 23rd, 2022

No comments

Bya Benjamin Jumbe,

Sipiika wa palamenti Anita Among aganye okusaba kwa kamisona Solomon Silwany, nga abadde ayagala omukulembeze w’eggwanga ayitibwe okwogerako eri bannauganda ku mbeera y’ebyokwerinda.

Kaminsona era nga ye mubaka wa Bukooli Central County abadde asabye sipiika ayite omukulembeze w’eggwanga okwogerako eri ababaka ba palamenti n’eggwanga lyonna ku mbeera y’ebyokwerinda eriwo mu Karamoja n’e mu ggwanga lyonna.

Okusaba kwe kiddiridde okweraliikirira okwaleetebwa bammemba babiri olw’ebigambibwa nti abalwanyi bagenda mu maaso n’okutta abantu baabulijjo mu kitundu ky’e Karamoja.

Sipiika wabula agambye nti tekyetaagisa kuba pulezidenti yalonda baminisita abavunaanyizibwa kunsonga zino.

Mungeri y’emu bw’abadde ayanukula kukweraliikirira kuno, minisita ow’ensonga z’omunda mu ggwanga Gen David Muhoozi agambye nti ensonga zino zilondolwa era zijja kolwako.