Amawulire

Sipiika afulumiza ebiragiro mu kutangira Ebola ku Palamenti

Sipiika afulumiza ebiragiro mu kutangira Ebola ku Palamenti

Ivan Ssenabulya

November 1st, 2022

No comments

Bya Rita Kemigisa,

Sipiika wa palamenti Anita Among afulumizza ebiragiro ebikakali ku Ebola eri abakiise ba palamenti n’abagenyi.

Mu kwogerako eri ababaka akawungeezi kaleero oluvannyuma lw’omwezi mulamba ng’a bali mu luwummula, Among agambye nti ebiragiro bino bikwatagana n’ebiragiro okuva mu minisitule y’ebyobulamu okuziyiza okusaasaana kw’obulwadde buno.

Okusinziira ku Among, wagenda kubaawo okukugirwa okubeerawo kw’abakiise mu mubungi nga ababaka 100 bokka be bakkirizibwa mu buli lutuula lwa palamenti nekigendererwa ekyokwewala omugoteko.

Agamba nti ababaka 400 bakuteesezanga okuyita kunkola ya zoom.

Agattako nti ababaka bonna n’abagenyi abayingira palamenti balina okwambala masiki, okupimibwa ebbugumu, okunaaba mu ngalo ne birala.