Amawulire

Sikyampisa okuvuganya ku kifo kyafudde nga tanaziikibwa-Muliira

Sikyampisa okuvuganya ku kifo kyafudde nga tanaziikibwa-Muliira

Ivan Ssenabulya

March 22nd, 2022

No comments

Bya Ivan Ssenabulya,

Kikyamu era ssi kyampisa na buntu bulamu, okuvuganya ku kifo kyomuntu eyafudde nga tanaba na kuzikibwa.

Ekifo kyamyuka sipiika wa palamenti kyasigala nga kikalu, oluvanyuma lwokufa kwa Jacob Oulanyah, Mukama gweyajulula ku Sunday mu gwanga lya America.

Bwabadde ayogerako naffe, munnamateeka Peter Muliira, agambye nti kinenyezebwa ku teeka kubanga lyasirika ku mbeera enzibu ngeriwo olwaleero.

Agambye nti ssi kyampisa amyuka sipiika Anita Among okuvuganya kubwa sipiika, atenga akyakutte nekifo kyomumyuka.

Awabudde nti enongosereza zikolebwe mu mateeka mu biseera ebirijja, namyuka sipiika awebwenga obuyinza.