Amawulire

Sheikh Hassan Kiirya atemuddwa

Sheikh Hassan Kiirya atemuddwa

Ali Mivule

July 1st, 2015

No comments

sheikh kiiryaEnnaku ezzemu okuzingako abayisiraamu b’eggwanga oluvanyuma lw’okuttibwa kwa sheikh Hassn Kirya.

Sheik Hassan Kiirya y’abadde omwogezi w’ekibuli era y’atiddwa ekiro ekikeesezza olwaleero.

Okusinziira ku akola nga supreme Mufti  Sheik Mahmood Kibaate, sheikh Kirya y’abadde ava kusaala talawuya wali mu Ndeeba kumpi n’akayanja ka Kabaka nebamuttira e Kireka.

Imam w’omuzikiti gwe Kibuli sheikh Abdulsalam Mutyaba ayongera okunyonyola ku nteekateeka z’okusabira omugenzi.

 

Ye omwogezi wa poliisi mu ggwanga Fred Enanga ategezezza nga bwebaawa sheikh Kirya abakuumi ababadde bamukuuma nebamaseka abalala nga era baakugenda mu maaso n’okunonyereza ku ttemu lino

Kirya  seeka  wakusatu okutibwa okuva mu December w’omwaka oguwedde.

Sheikh Abdul Qadir Muwaya yeyasooka okutibwa,Sheikh Mustafa Bahiga n’addako.

Bamukwatamundu era baagezaako okutta Sheikh Haruna Jemba, ku ntandikwa y’omwaka guno.

Abantu abawerako bazze bakwatibwa ku ttemu lyabamaseeka nebagulwako emisango gy’obutemu.

Yo poliisi erumiriza nti abayeekera ba ADF balina akakwate ku ttemu lino.

Omugenzi seeka Kirya wakusabibwa ku ssaawa 7 ku swala ya Zuhuri aziikibwe mu limbo Enkowe ku ssaawa 10.