Amawulire
Seya aviiriddemu awo ku bya MTN
Eyali meeya wa Kampala Al-Nasser Ntege Sebaggala aviiriddemu awo mu musango gweyatwala mu kkooti ng’awakanya ekya MTN okukozesa eddoboozi lye
Ekyewunyisa nti ate yye gwebalagidde okusasula MTN olw’ensimbi z’eyonoonye mu musango
Omulamuzi wa kkooti ekola ku byobusuubuzi Christopher Madrama agobye okusaba kwa Ssebagala nti asasulwe obuwumbi 8 olwa MTN okukozesa eddoboozi lye mu bukyaamu
Omulamuzi agambye nti SSebaggala ebigambo MTN byeyali ekozesa yabyogerera mu Lukiiko lwa bannamawulire kale nga teyagaanako Muntu yenna kubikozesa
Wabula Ssebaggala agamba nti wakujulira kubanga tamatidde bivudde mu kkooti.
Ssebaggala agambye nti ssinga MTN yali tesasuza bantu kukozesa ddoboozi lye teyandifuddeyo , naye MTN yali ejjako abantu ensimbi.