Amawulire

Semi-Fayinolo za Uganda Cup zaamwezi gujja

Semi-Fayinolo za Uganda Cup zaamwezi gujja

Ivan Ssenabulya

August 31st, 2021

No comments

Bya Lukeman Mutesasira

Abaddukanya omuzannyo gwomupiira mu gwanga aba FUFA, balangiridde ennaku ezokusambirako semi-finals za 2020/21 Stanbic Uganda Cup nentekateeka egenda okugobererwa.

Empaka zino zakuberawo nga 21 nenkeera waalwo nga 22 Sebutemba 2021, era empiiira gyonna gyakusambibwa omulundi gumu, tewajja kuberawo mupiira ogwokuddingana, nga bwekibaddenga.

Emipiira gyonna gyakusambibwa ku FUFA techinical centre e Njeru.

Police FC bwakubefuka ne Vipers atenga Express baakusamba BUL FC.

Kinajjukirwa nti omwaka oguwedde, empaka zino tezakomekerezebwa, olwekirwadde kya ssenyiga omukambwe.