Amawulire

Rukungiri awuuma NRM ne FDC bubeefuka.

Ivan Ssenabulya

May 29th, 2018

No comments

Bya samuel Ssebuliba.

 

Omukulembeze we gwanga Yoweri Kaguta Museveni akuutidde abantu be Rukungiri okwesamba banabyabufuzi ababanyumizza emboozi ezawulayawula mu bantu nga besigama ku mawanga n’amadiiini.

Bwabadde anoonyeza munna NRM Winnie Matsko akalulu wali e Rukungiri Municipal stadium president President agambye nti  eby’obufuzi nga bino bikuumidde egwanga emabega , kale nga yenna ebitembeeya agwana kuwewala.

Kati ono abasabye okulonda  munna Winnie matsiko kubanga yaagenda okubatuusa ku nkulakulana egwana.

Ate kuludda  lwa FDC,kakuyege awomedwamu omutwe ebikonge bibiri nga kuno kuliko  Dr Col KIIZA Besigye  n’omubaka we Kyadondo East  Robert Kyagulanyi.

Bwabade ayogerako n’abantu be Rukungiri nga asinziira wali mu kisaawe e  Kebisoni,  Kyagulanyi   agambye nti okulonda kuno sikwa FDC kuwangula, wabula kuno kulwana kulaba nga egwanga lifuna abakulembeze abalina ensa.

Kati ono abantu beeno abasabye okulonda abakulembeze abagenda okutuusa ebiteeso byabwe  mu palamenti sosi kwogera kibiina byekigambye , kale nga wano Betty Muzanira ky’ekyokudamu.