Amawulire

Red Cross erabudde nti amataba gakweyongera

Red Cross erabudde nti amataba gakweyongera

Ivan Ssenabulya

September 19th, 2021

No comments

Bya Benjamin Jumbe

Ekitongole ekiddukirize ekyomusalaba omumyufu, Uganda Red cross bawabudde abantu abali mu bifo ebyobulabe nti babyamuke, banoonye awalala webayinza okubeera.

Abantu anddala abamu mu nsozi nemu bifo ebitera okukosebwa amataba, balagiddwa okuvaayo bagende mube nganda okutuusa embeera lwenaterera.

Bino webijidde ngabakugu balagudde enkuba omugenda okujira amataba nokubumbulukuka kwettaka, mu bitundu byenga ebyenjawulo.

Owmogezi wa Red Cross Irene Nakasiita okuyisa okulabula nga waliwo embuyaga eyakuntidde mu tawuni kanso ye Kakumiro mu gombolola e Kitaihuka nemu bitundu ebirala okuli Namabasa e Mbale nemu disitulikiti ye Kween.

Ono alabudde nti emigga gyandiyongera okubooga.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *