Amawulire

RDC alabudde abakulu b’amasomero obutaggula nga tebalina bisanyizo

RDC alabudde abakulu b’amasomero obutaggula nga tebalina bisanyizo

Ivan Ssenabulya

January 25th, 2023

No comments

Bya Abubaker Kirunda,

Omubaka wa gavumenti atuula mu disitulikiti y’e Jinja Richard Gulume, asabye abaddukanya amasomero g’obwannannyini okutuukiriza ebisaanyizo byonna ebyetaagisa nga tebannaggulawo lusoma lwa ttaamu esooka omwezi ogujja.

Ono agamba nti yeetegereza nti amasomero mangi tegalina bisaanyizo ebyetaagisa minisitule y’ebyenjigiriza era nga gaakolera mu bukyamu omwaka oguwedde kyokka ku luno tewali nsonga yonna egenda kuweebwa.

Gulume agamba nti ofiisi ye ekwataganye n’abakulira ebyenjigiriza okulaba nga tewali ssomero likkirizibwa kuggulwawo nga teririna bisaanyizo byetaagisa.

Anyonyodde nti abakozi abatalina bisaanyizo, obutaba na bikozesebwa birungi mu ebisulo ne kaabuyonjo tebigenda kukkirizibwa.