Amawulire

Raila Odinga alayiziddwa nga President w’abantu.

Ivan Ssenabulya

January 30th, 2018

No comments

Bya samuel ssebuliba.

Oluvanyuma lw’obunkenke obubadde mu gwanga lya Kenya wamu n’okwongezaayo okulayiira okuva mu  December nga 12 2017 ,kyadaaki  Raila Odinga amaze  neyelayiiza nga omukulembeze omulonde ow’abantu be Kenya .

Ono mukulayira akwasiddwa  ekitabo ekitukuvu mu langi eya kiragala songa ku lusegera wabadewo  eyali omuyambiwe Miguna Miguna n’omubaka we  Siaya James Orengo, Raila akubye ebilayiro bye wakati mubawagizi bbe wali kukisaawe kya Uhuru Park,e Nairobi.

Tutegeezedwa nti omumyuka we Kalonzo Musyoka tasobodde kubeerwao kumukolo guno .