Amawulire
Ragga Dee akiriiza
Munna NRM Daniel Kazibwe amanyiddwa enyo nga Raga Dee akkirizza nti ddala Loodi Meeya Erias Lukwago y’amuwangudde .
Ragga Dee y’afunye obululu 49,366 sso nga Lukwago yakukumbye 176,637 kale nga enjawulo y’abadde ya bululu 127,271..
Munna DP Issa Kikungwe yeyasembye n’obululu 7,750
Kati Ragadee agamba wakudda ku mirimu gye emikadde omuntu bw’afiirwa tasula ku malaalo.