Amawulire

Radio ne TV ezeggume zakukangavulwa.

Ivan Ssenabulya

July 4th, 2018

No comments

Bya samuel ssebuliba.

Akakiiko akakola ku by’empuliziganya kanakuwalidde abantu abakozesa emikutu gy’ebyempuliziganya nga Radio okulwana entalo zaabwe, ko n’okuwudiisa abantu.

Bwabadde ayogerera mu lusirika lw’abanyini mikutu gy’amawulire olugenda mu maaso wano mu kampala, akulira akakiiko kano Godfrey Mutabaazi agambye nti kyenyamiza okulaba nga waliwo abasumba abafudde radio zino akatuuti ak’okuvumirako banaabwe, songa abalala bakyaza abafere okunyaga bana-uganda.

Ono agambye nti abantu bangi badukira gyebali nga bakaaba olw’okubanyaga, kale nga kino kibaviirideko oluusi okuvaayo okukangavula Radio ezikyaza abasawo bano abafere.

Kati ono agambye nti kunsonga nga zino tebagenda kuba nabugumikiriiza, buli akwatibwa nga amanye amayeeka agatekebwawo ku nsonga eno, ekidako kugenda kuba kuwa mutango oba kuggalwa.