Amawulire

Pulogulamu y’okuziika ssebaana efulumye

Ali Mivule

July 4th, 2017

No comments

Bya Ritah Kemigisa

Eyali meeya wa Kampala John Ssebaana Kizito wakuziikibwa ku lwomukaaga ku bijja byabajjajaabe e Mpande- Kalule imu  Bulemeezi.

Okusinziira ku benyumba wali e Kamwokya, omulambo gukyali mu bakola ku bafu aba Uganda Funeral Management e Kamwookya nga era okusinziira ku nteekateeka gwakujibwayo ku lwokuna.

Ku lunaku olwo wakati w’essaawa 2 ne 4 ezokumakya omugenzi wakutwalibwa ku City halla ekitebe kya KCCA okujjukira ebirungi byeyakolera ekibuga Kampala oluvanyuma ku ssaawa 5 ez’okumakya gutwalibwe mu palamenti okujjukira ebirungi byeyakolera eggwanga okutuusiza ddala ssaawa 11 ezakawungeezi.

 

Ku lwokuna ekiro wakukumibwa olumbe mu makage e Kansanga  era ku lwokutaano bamutwale ku kitebe kya kampuni ye eya Yinsuwa eya SWICO nga eno ssabasuumba w’essaza ekkulu owa Kampala Dr Cyprian Kizito Lwanga wakukulemberamu ekitambiro ky’emmisa mu kifo kino.

 

Omugenzi era wakusabirwa ku ekeleziya ye ye Namirembe oluvanyuma omulambo gutwalibwe e Mpande Kalule mu disitulikiti ye Luweero gy’agenda okugalamizibwa ku lwomukaaga ssaawa 8 ez’emisana.