Amawulire

Pulezidenti ayawukanye ne Mukyala we

Ali Mivule

January 25th, 2014

No comments

France president

Omukulembeze w’eggwanga lya Bungereza Francoise Hollande akadde konna agenda kulangirira mu butongole nti ayawukanye ne mukyala we Valerie

Kino kiddiridde ebyafulumidde mu mpappula z’amawulire ngaa biraga nti omukulembeze ono abadde akukuta n’omuzannyi wa firimu.

Hollande teyagaanye kuganza munakatemba ono  Julie Gayet  kyokka ng’akkiriza nti obufumbo bwaabwe ne mukyala we buyuuga

Mukyala we amawulire ga bba okwenda gaamukuba wala era ng’amaze ssabiiti namba mu ddwalairo ng’ajjanjabibwa

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *