Amawulire

Pulezidenti agamba talina buyinza buta Bobi wine.

Pulezidenti agamba talina buyinza buta Bobi wine.

Ivan Ssenabulya

August 25th, 2018

No comments

Bya samuel ssebuliba.

Omukulumbeze we gwanga Kaguta Museveni, atangaazizza nga bw’atalina buyinza obuyimbula  omuntu yenna okuva mu komera, nga abamu bwebabade bamusaba akole ku nsonga z’omubaka we Kyadondo East Robert Kyagulanyi.

Kinajukirwa nti okuva kyagulanyi n’ababaka abalala lwebakwatibwa ku by’okukuba amayinja emotoka ya president, abantu bazze balumba omukulembeze we gwanga nga bagamba nti yeyalagira bano okukubwa , kko n’okusibwa kale nga agwana abate kuba tebalina musango.

Kati ono mukiwandiiko kyatuwerezza agambye nti buno buvunanyizibwa bwa kooti na muwabi wa government, kale nga mukaseera kano talina busobozi bwonna okubaako kyanyega.

Ono agambye nti ye okubaako kyakola kisoboka singa  bano banasingisibwa omusango, awo waayinza okubaweera ekisonyiwo.