Amawulire
Pulezident atabukidde ekitongole ekiramuzi.
Bya Malik Fahad.
Omukulembeze we gwanga atabukidde ekitongole ekiramuzi, nga agamba nti ky’ekiyimbula abazzi b’emisango, okukakana nga bazeemu okukola obulabe eri banna- uganda.
Museveni okwogera bino abadde ku kyalo Kisojjo mu gombolola ye Kibinge wano e Bukomansimbi nga eno abadde egenzeeyo kuwayaamu n’abantu abaagwiriddwa ekikangabwa abatamanya ngamba bwebasse abantu 5 e Lwengo ne Bukomansimbi.
Ono yategeezeza abatuuze nti waliwo abantu abatwalibwa mu makooti nga bazzi ba misango, kyoka olw’emiwatwa mu kitongole ekiramuzi okukakana nga bayimbudwa ete nebadamu okutigomya banna- uganda.
Wabula ono mungeri yeemu asabye abatuuze beeno okubeera abasaale mukulwanyisa abazzi b’emisango , kubanga abamu bakozesa ebintu nga emiggo amajjambiya nebirara, kale nga singa abatuuze babeera betegefu bayinza okwelwanako.