Amawulire

Presidenti Museveni azzeemu okukatiriza okusirikiriza mu kulwana wakati wébiwayi ebitakkanya e Sudan

Ivan Ssenabulya

May 11th, 2023

No comments

Bya Mike Sebalu. Omukulembeze wéggwnaga YK Museveni azzeemu okuttukkiza okusaba ebiwayi ebiri mu kulwanagana mu gwanga lya Sudan okuteeka wansi ebyókulwanyisa bateeseganye ku lwóbulungi bwéggwanga lya Sudan ebyómumaaso.

President Museveni yabadde asisinkanye sentebe wákakiiko akalwanilira okutebenkeza obutali butebenkevu obwabalukawo mu gwanga lya Sudan Amb. Dafallah Al Haj Ali mu maka góbwa President Entebbe okumuyitira mu mbeera egenda mu maaso mu gwanga lya Sudan.

President bano abategeezezza nga okusirisa mu kulwana kyekyokka ekigenda okubawa ekituufu ekiddako nókuwa omwaganya abantu okwelondera abakulembeze.

Ategeezeza nga eggwanga lya Sudan bwelitali lyÁmaggye wabula lya bantu nga basanye bawulirize okusaba kwabwe.

Okulawangana mu gwanga  lya Sudan kwabalukawo nga 15 omweezi oguwedde wakati wékiwayi kyákulira egye eliri mu bukulembeze

Gen Abdel Fattah al- Burhan neyali amumyuka era omudumizi wákabinja kabalwanyi aka Rapid Support Forces (RSF) Mohamed Hamdan Daglo.

Mu buufu bwebumu, akakiiko kékitongole kyámawanga amagatte akavunanyizibwa ku dembe aka UN Human Rights Council kayise olutuula olwóbukubilire e Geneva leero batunule mu nsonga ezigenda mu maaso mu gwanga lya Sudan.

Kiddiridde amawulire góutyoboolebwa kwéddmebe lyóbuntu okusukkiridde nga muno nábajasi okukola obulumbaganyi ku bantu baabulijjo, abalala babakaka mukwano ate nókunyaga amawaliro.

Abantu abali eyo mu nkumi nénkumi babunze nébitongole ebigabiriiz byóbuyambi bisanga okusomoozebwa okutuukiriza obuvunanyiizibwa.

Amawanga agamu nga ne Sudan mwogitwalidde kigambibwa nti ekyensisinkano eno bakitunuulide kyamuli nga batya nti yandigotanya akalembereza kokusirikirza mu kulwana akabadde katandise okuwulirwa.

Ensisinkano eno eyitiddwa amawanga okuli Bungereza, America, Germany ne Norway.