Amawulire

Presidenti Museveni Ayogedde Ebyobulimi mu Kulamaga

Ivan Ssenabulya

June 3rd, 2017

No comments

Bya Damalie Mukhaye

President we gwanga lyattu erya Uganda Yoweri Kaguta Museveni asabye abalamazi abavudde mu bitundu byensi ebyenjawulo okujumbira enkola yokufukirira ebirime nga bakozessa ebyuma ebya Solar okuva mu manyi genjuba, okuvunuka enjala  egoyezza amawanga ga Africa nga ne Uganda mwogyitwalidde.

Buno bwebuka bwa pulezidenti obumusomedwa omumyuka we Edward Ssekandi mwategereza nti amawanga ga Africa agasiinga galina obutonde bwensi okuli enyanja, emigga nebirala kyokka kyewunyisa okulaba ng’abantu bakyafa enjala.

Ono kati awadde abakirizza amagezi okuddayo okusoma ekitabo ekitukuvu ekya bible Katonda weyabagambira okugenda mu nsi bazaale, nokulya nga kati kino banakukikola nga bayita mukwetanira okulima okw’okufukirira ebrlime okuba ne mmeere emala.

Mu bubaka bwebumu akakasizza abalimi nti gavumenti yetesetese okuyambako abalimi mu nonga yonna.