Amawulire

Presidenti Museveni aweze ebikooti ebyebikofiira

Ivan Ssenabulya

June 11th, 2018

No comments

Bya Benjamin Jumbe, Sam Ssebuliba and Dmalie Mukhaye

Abadde omubaka wa munispaali ye Arua Ibrahim Abiriga, akawungeezi kano agalamiziddw mu nyumba ye eyoluberera.

Ono azikiddwa kun kyalo Lukudu mu gombolola ye Rhino cmp, mu district ye Arau.

Eno omukulembeze we gwanga Yoweri Kaguta Museveni, aweeze enyambala eyebikooti nebikofiira eri abavuga pikipiki.

Ategezezza nti eri abambala ebikofiira bi katamu ziyite helment, balina okubeera nempya atenga kuliko namba nokusobola okubawula,  nga byonna bigendereddwamu okulwanyisa obutemu naddala obukolebwa nga bakozesa pikipiki.

Bino webijidde nga kigambibwa nti abatemudde omugenzi babadde bakozesa pikipiki.

Museveni olumaze navumirira abaoludda oluvuganya gavumenti, nti bebaseesa mu njawukana mu madiini, amawanga nebyobufuzi nti tebigwanidde kuvirako bantu kuttingana.

Alabudde nti bano bawakula entalo mu mbeera eno, songa NRM ebadde tetanga ku banabyabufuzi bebawukanya endowooza.

File Photo: Museveni nga ayogera

Ate abekibiina kya NRM basabye poliisi okukwata buli munabyabufuzi, agambibwa nti yeyakunze abantu okulwanagana omulambo gwa Abiriga bwegwabadde gutusibwa.

Eno wabaddewo akavuyo, abantu bwebayonoonye ebintu byomugenzi Abiriga mu maka ge, nga poliisi yabakubyemu nomukka ogubalagala.

Ssabawandiisi wa NRM Justine Kasule Lumumba atetezeza nti baazudde nga waliwo banabyabufuzi, abakunze bantu bano okwetaba mu bikolwa ebye fujjo.

Agambye nti embeera eno tebajja kujikiriza nga poliisi egwana kubakwata.

Ono omugenzi amwogeddeko ngabadde okungira ekibiina ateera akyagala ennyo.

Mu balala abogedde ye mubaka we ssaza lye Aruu mu palamenti Samuel Odonga Otto asabye babaka banne, bwebali mu palamenti bakomye okwogera ebiwawaza amattu ku nfa yabadde omubaka we Arua Rt. Col Ibrahim Abiriga okufuna etutumu lyebyobufuzi.

Agambye nti kya nnaku mu mbeera eno okuba nti waliwo ababaka abogera ebitasanidde.

Ogongo Otto agambye nti okufa kwa Abiriga kugwanidde kugatte bann-Uganda sso ssi kubawulamu.

Ate Commissioner wa palamenti, omubaka we Usuku, Peter Ogwang asabye omukulembeze we gwanga, Yoweri K. Museveni okukola ku nsonga yebyokwerinda eri ababwagizi bekibiina.

Ogwang agambye nti ababaka ba NRM nabawagizi bekibiina emitima gyabewanise oluvanyuma lwebyabaddewo ku Lowkutaano, okutemula munaabwe.

Wano era asabye presidenti Museveni era aokuwagira aba Fmily yomugenzi.

Wabula omukulembeze we gwanga mu bubaka bwe agambye nti wakubawagira.

Bbo abekibiina kya FDC begaanye, okubeera emabega wakegugungo akabaddewo, omulambo gwabadde omubaka wa munispaali eye Arua Ibrahim Abiliga bwegwabadde gutuisibwa mu district.

Bwabadde ayogera ne banamwulire ku kitebbe kyekibiina e Najjanakumbi, omumyuka wa ssbawandiisi wekibiina Harold Kaija agambywe nti buno bwabadde busungu bwabantu bomu kitundfu olwokutibwa kwomukulembeze waabwe.

Ono agambye nti bbo ngaba FDC tebakibaddemu na mukono yadde.

Mungeri yeemu ekibiina kya FDC kitegezezza nga gavumenti bwegwana okuvaayo, yeetondere banna-Uganda olwokulemwa okubakuuma nebyaabwe.

Bino bigidde mukadde ngekittta bantu kikuzze, nga nekyakasembyeyo kwekukuttibwa kwa Abiriga.

Herold Kaijja agambye nti Abiriga ssi yasoose okuttibwa mu mbeera eno, nga police egwana ekyasanguze nti emirimo gigiremye, banna-Uganda befeeko.

Ono agamba nti president aludde ngasubizza okubaako kyakola  ngokuteeka  camera mu Kampala, kyoka nokutuusa kati mpaawo kyali kkoleddwa.