Amawulire

President wakukomyawo ebbago ku bisiyaga eri Paalamenti

President wakukomyawo ebbago ku bisiyaga eri Paalamenti

Ivan Ssenabulya

April 21st, 2023

No comments

Bya Ritah Kemigisa. Omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni wakukomyawo ebbago ku bisiyaga eri Parliament babeeko enongesereza zeboongera okulikolako nga tannaba kuliteekako mukono okulifuula etteeka.

Mu nsisinkano bano gyebabaddemu mu kisaawe e Kololo, ababaka b’akabondo k’ababaka b’ekibiina ekiri mu bukulembeze ki NRM nga bali wamu ne Sentebe w’ekibiina era omukulembeze w’eggwanga, bakubaganyizza ebilowoozo ku bago ku bisiyaga eryasindikibwa eri mukama wabwe emabegako.

President yabategeezezza nga bweyawandiikidde edda Ssabawolereza wa Gavumenti Kiryowa Kiwanuka ng’amutegeeza ku biki byayagla byongere okwetegerezebwa.

President era yasuubizza okusisinkana akakiiko ka Parliament ku by’amateeka akatunuulira ebbago lino wamu neyariwomamu omutwe era omubaka wa Municipaali y’e Bugiri Asuman Basaalirwa n’abantu abalala abalina akakwate mu bago lino sabiiti ejja bamulungule obwo bwalowooza nti bwetaaga okulongosebwa.

President wabula yasiimye ababaka olw’okussa ekimu ku kintu ng’ekyo ekisanyawo obuwangwa.